Nga Katonda bwatulagira okusaba obutalekaayo, era atulaga mu ngeri nnyingi lwaki tulina okusaba obutalekaayo era natulabula okusaba tuleme okugwa mu kukemebwa. Nga okussa bwe kutali kuzibu eri omuntu omulamu obulungi, omuntu omulamu mu mwoyo takisangamu buzibu era tekimukaluubiriza okutambulira mu kigambo kya Katonda nokusaba obutalekaayo. Kino kiri bwe kityo lwakuba omuntu gyakoma okusaba, gyakoma nokuba omulamu era nga buli kimu kiba kimutambulira bulungi era nga ne mmeeme ye eri bulungi. Kale obukulu bwokusaba tebusobola kunyonyolwa ne buggwayo.
Veja mais